Olwaleero akakiiko k’ebyokulonda lwekatandise okusunsula abeegwanyiza obukulembeze ku mutendera gwa gavumenti ez’ebitundu mu ggwanga lyonna nga ku mutendera guno batandise nabegwanyiza obwa ssentebe bwa disitulikiti , ba meeya b’ebibuga ne, bakansala Wano mu kampala tukizudde nga kulunaku olusoose abazze nga bannamunigina okusunsulwa basusse ku bajjidde ku kaadi z’ebibiina. Kko akakiiko k’ebykulonda aka kampala kalabudde abajja okusunsulwa obutageza kuyisa ebivvulu, oba okujja n’abantu abasusse obungi.