E Masaka okunsunsula abeegwanyiza ebifo by’obukulembeze ku mutendera gwa gavumenti ez’ebitundu nayo kujjumbiddwa, kyoka abakwatidde NUP bendera bayise mu kusomooza nga waliwo n’asaze ag’enkolwa naafuna sitampu y’ekibiina newankubadde nga ku lukalala lw’abaziweebwa taliiko.Mungeri y’emu ne Lwengo wabaddeyo okusika omuguwa, bwekitegeerekese nti abakulu okuva ku kitebe ki NUP bwebakubye essimu nga bayimiriza okunsulwa ka bakansala abaweebwa kaadi , akakiiko k’ebyokulonda kye kawakanyizza.