Embera y’eddwaliro li Nyaruhandagazi Health Center 111 erisangibwa mu district ye Rwampara yeralikirizza abalikozesa okufuna obujanjabi wamu n’abaliddukanya.
Eddwaliro lino lijjanjaba abalwadde abasukka mu 700 omwezi kyokka abakozi tebawera yadde 20,teririna mazzi,kagabe amasanyalaze, songa n’eby’obuyonjo byenyamiza .