Abakulira akakiiko akataba enzikiriza ezonna ka Inter-Religious Council of Uganda basabye abalyoyi b’emyoyo bonna mu ggwanga okwewalira ddala okusembeza eby’obufuzi okumpi n’ebituuti okubuulirirwa enjiri.
Bano bagamba nti newankubadde abakulembeze b’ediini baddembe okujjukiza abantu okulonda, n’okufaayo ku byobufuzi, naye tebagwana kutandika kubalaga bantu be balina kulonda,kubanga kino kiyinza okuvaako obukuubagano.
Bano webogeredde bino nga n’akakiiko k’ebyokulonda kye kajje kabalabule ku ky’okuyita bannabyabufuzi mu masinzizo okwebata ku mikolo egy’okusonsa ensimbi.