Omusawo w’ekinnansi agambibwa okukozesebwa mu kusiba omusango ng’akozesa ebikolwa eby’ekirogo ku musango gw’okutemula eyali amyuka ssaabawaabi wa gavumenti Joan Kagezi olwaleero awaddeyo obujulizi bwe mu musango guno ng’omujulizi ow’ekkumi n’abasatu.