Waliwo ekitabo ekifulumiziddwa okulambika ensala n’empoza y’emisango egyekuusa ku kalulu k’ababaka ba Palamenti. Ekitabo kino ekyawandiikiddwa Omulamuzi Lilian Tibatebwa kyesigamye ku kalulu ka bonna akawedde era kiruubirira okuyambako abalamuzi mu nsala y’emisango mpozi n’okulambika bannamateeka ku mpoza yaagyo naddala ng’eggwanga liyingidde ekiseera ky’okulonda kwa 2026.Bino bibadde ku mukolo ekitongole ekiramuzi kwekitongolezza alipoota yaakyo eyomwaka 2024/2025.