Olwokano lwokuwangula engule ya motoka z’empaka ey’omwaka guno lwakwolekera mu bukika kono bw’eggwanga mu kibuga Gulu ku nkomeroro ya sabiiti ejja badereva okuli Ponsiano Lwakataka, Ronald Ssebuguzi ne Richard Segabwe abakulembedemu banabwe mu bubonero bwebanaba batunka mpaka zino ezikulembera ezisembayo omwaka guno.Empaka zino era ezibbuddwaamu erinya lya Ravij Ruperelia eyafira mu kabenje ka motoka gyebuvudeko zitongozeddwa olwaleero wakati mu kukubiriza abavuzi nabawagizi okwegendereza obubenje obuva mu kuvugisa ekimama.