Abantu abawangalira mu district ye Bundibugyo basobeddwa oluvanyuma lwe’byentambula okusanyalala mu bitundu ebye njawulo mu district eno olw’entindo ezisoba mu 10 okwononebwa Nnamutikwa w’enkuba atonya obutasalako ensangi zino.Embeera y’emu eri ne mu district nga Bududa ne Bukedea,abaayo nabo embeera gye balimu tewoomya ttooke kuba nabo enguudo ezisinga obungi zasaliddwako amataba nga kati buli omu akonkomalidde gyegamusanze.Gavumenti egamba terine ssente kuddabiriza nguudo na ntindo zino mu kisera kino.