Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira, The Uganda Cranes, yakudda mu nsiike ku Lwokuna lwa wiiki ejja bwenaaba ettunka ne Botswana mu luzannya lw’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna olw’okuddingana.
Kati olwaleero omutendesi Paul Put alangiridde ttiimu y’abazannyi 26 egenda okuzanya emipiira ebiri okuli ogwa Botswana ne Algeria.