Webwazibidde eggulo ng’abantu babiri bokka bebakatuukiriza obukwakkulizo obwetaagisa okusunsulwa akakiiko k’ebyokulonda ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga.Akamu ku bukwakkulizo buno gy’emikono gy’abalonzi 100 okuva mu buli disitulikiti waakiri bibiri byakusatu ebyeggwanga. Okusinziira ku mwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Mucunguzi, ku bantu 27 abakazaayo empapula ababiri bano be balina emikono emituufu era egyakasiddwa obulungi .Ab’ekibiina ki Commonmans Party ekikulemberwa Mubarak Munyagwa be bamu ku basattira oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti emikono gyabwe tegimala.