Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde akakiiko k’e byokulonda,okwolesa amazima n’obwenkanya mu nteekateeka zaako zonna, kataase eggwanga akatyaba akayinza okuva mu kuwakanya ebivudde mu kulonda. Katikkiro agambye nti abavuganya bonna bagwana okukwatibwa kyenkanyi, songa n’emiziziko gyonna egyiremesa abamu okunsunsulwa gyikolweko , abeeganyiza ebifo by’obukulembeze babeere bamativu.Bino katikkiro abyogeredde Bulange e Mengo bwabadde asisinkanye abantu ba kabaka okuva e singo, Mawokota n’amasaza ag’ebweru w’e ggwanga abakiise e mbuga mu nkola y’oluwalo.