Besigye ne Lutale, tebalabiseeko mu kkooti ekubiriziddwa omulamuzi Baguma

Gladys Namyalo
1 Min Read

Omulamuzi wa kkooti enkulu Emmanuel Baguma nate azeemu okutumya Dr. Besigye ne Obedi Lutale abanaatera okuweza omwaka ku alimanda bamunyonyole mu buntu lwaki tebaagala alamule musango gwabwe nga basaba okweyimirirwa ku musango gw’okugezaako okulya munsi olukwe.Kyoka bannamateeka b’abawawaabirwa nga bakulembedwamu Elias Lukwago bakalambidde nti abantu baabwe sibakulinya kigere mu kooti ekubirizibwa omulamuzi Baguma kubanga ajjudde kyekubiira. Lukwago y’omu akalambidde nti talaba na nsonga lwaki omusango guno guwulirwa mu maaso ga kooti enkulu,songa era omusango gwegumu gwakuwulirwa wansi wa kooti ewozesa bakalintalo. Bano okukaawa babade bakomyewo gwakubiri okusabira abantu baabwe okweyimirirwa. Kati omulamuzi Baguma abagambye nti bakomewo nga 8th omwezi ogujja,bamunyonyole lwaki baamukyawa okutuuka ku kino.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *