Akakiiko K’ebyokulonda katandise okwekenneenya okwemulugulanya okwakatwaliddwa bannakibiina ki DP, nga bawakanya ekya Nobert Mao okukwatira ekibiina kino bendera ku ky’omukelmbeze w’eggwanga mu kalulu akaggya.
Olwaleero akakiiko kasisinkanye enjuyi zombi okuva mu DP, era kasuubizza okuwa ensala yaako ng’ennaku z’okusunsula abanaavuganya ku ky’omukulembeze w’eggwanga tezinatuuka.