Uganda eruubirira okulaba nga wegunaatuukira omwaka 2030 ng’eweza ebitundu 60 ku buli kikumi ebyabaana abasimattuse ekirwadde kya Kookolo.Okusinziira ku bakugu mu kujjanjaba ekirwadde kino mu ddwaliro lya Kookolo e Mulago, abaana abalina kkansa basobolera ddala okuwona singa baba bafunye obujjanjabi obwetaagisa mu bwangu. Eky’okulabirako y’emboozi y’omuzadde ono eyasobola okujjanjaba omwana we n’awona bulungi kookolo w’omumusaati muyite Leukemia.