Waliwo munnabyabufuzi Fred Kangave alumirizza banne na ddala abaagala okukiikrira ekitundu kya Busiro East mu Palamenti okumuyungako omusango gw’okukabasanya omwana atanetuuka n’amufunisa n’olubuto ekimukuumidde mu kkomera okuva mu mwaka gwa 2024.
Kangave ono yayimbuddwa sabiiti ewedde nga talina musango gwonna gumuguddwako ekintu ky’agamba nti kyaki kipange okusinziira ne ku kaseera k’ebyobufuzi wekikoleddwa.Ono agamba nti wadde yasobodde okusimattuka ekkomera oluvannyuma lw’obujulizi obumuluma okubula, agenda kugenda maaso n’enteekateeka ze ez’okuvuganya ku kifo kino ky’alumiriza okumuzaalira akabasa.