Olwaleero waliwo bannakibiina ki NUP abasiibye bagumbye ku kitebe ky’ekibiina kyabwe ekisangibwa e Makerere – Kavule okuwaayo okwemulugunya kwabwe ku byavudde mu kakiiko k’ebyokulonda ku by’okugaba bendera y’ekibiina eri abeegwanyiza ebifo mu gavumenti ezebitundu. Abamu ku bano bagamba baaweereddwa bendera y’ebitundu bye batakiikirira so ng’abalala bagamba nti waliwo obutali bwenkanya obwakoleddwa mu kugaba bendera zino. Baker Ssenyonga Mulinde yalondodde ensonga zino.