Nathan Nandala Mafaabi nga y’akwatidde FDC bendera mu kalulu akaggya yayaniriziddwa nga muzira mu disitulikiti y’e Mbale ng’eno gyagenda okusizniira okutandika olugendo lwe olw’okuwangula akalulu akaggya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwamnga. Mafaabi yalaze obwetaavu bw’abalwanirizi b’enkyukakyuka okwegatta okulaba nga batwaala obukulembeze. Nawankubade DP yajayo empapula okuvuganya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga, ssaabawandiisi w’ekibiina Gerrard Siranda mumativu nti Nandala yemutuufu okulemberamu olutabaalo lw’okwenunula.