Mu Taawo zoni e Makindye waliwo abatuuze abeekubidde enduulu olw’abakola oluguudo oluyita mu Taawo erimanyiddwa nga Elya Wansi okubaako akatundu ke babuuka, abakolerawo ne basigala nga batawaana ne nfuufu. Tukitegedde nti kino kyava ku nnyini nyumba ezaalina okumenyebwa okuyisaawo e kkubo okulwawo okuliyirirwa n’okutuusa kati. Abakulu mu KCCA bagamba nti bali muntekateeka ezikkirizisa nnyini nyumba zino okukkiriza ekkubo liyitewo.