Ng’enjega y’okubumbulukuka kw’ettaka ebuutikidde disitulikiti ye Buduuda omwaka oguwedde, abantu abaasimatukka baatwalibwa mu nkambi ye Bunambutye okugira nga beewomoga eyo ekyosi kimale okuyiita. Kati nga wayise ebbanga tutuseeko mu nkambi eno netusanga nga amaka agasinga gaasasika, abasajja bangi baayawukana ne bakyala baabwe,n’abaana ne bakwata gaabwe. Tukitegedde nti mu nkambi eno mulimu abantu abazze bakosebwa okubumbulukuka kw’ettaka mu disitulikiti ez’enjawulo okuli Buduuda, Bulambuli,sironko n’ewalala.