Disitulikiiti ye Rakai yeemu kwezo ezikyasoomozebwa mu byentambula olw’enguudo embi. Ng’oggyeko akatundu akataweza na Kilometer akaakubwa okuva e Lumbugu okutuuka ku kitebe kya disitulikiti ye Rakai, enguudo ezisigadde zonna za ttaka mu disitulikiti eno. Akasana bwe keememula enguudo zino zijjudde enfuufu so nga enkuba bwetonnya enfuufu eno ate efuuka ttoomi eriviirako amakubo agasinga okuseerera.