Kizuuse ng’amazzi g’omugga Mayanja bwe gatandise okwonooneka olw’enneeyisa yabantu abaguliraanye kko n’amakolero agamansa obukyafu mu mugga guno. Amazzi g’omugga guno maddugavu nnyo mu kiseera kino era nga gavaamu ekisu ekibi ekyongera okulaba obulabe bwegalina eri abantu abagakozesa mu bulamu obwabulijjo. Bino bizuuliddwa abavunanyizibwa kubutonde bw’ensi mu wakiso bwebabadde balambula engeri obutonde bw’ensi gyebukwatibbwamu nga bazimba enguudo.