Ab’ebitongole ebiri mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya batandise enteekateeka y’okukwatagana ne bannadiini okusobola okubuynyisa enjiri ekwata ku kirwadde kino n’engeri y’okukyewalamu. Bano okuli Uganda AIDS Commission ne Uganda Cares batandise n’ekibiina ekigatta abekkanisa z’abalokole ki National fellowship of born again Pentecostal churches of Uganda.