Anaawangula ekifo kyamyuka Ssentebe wa NRM mu Buganda alina eddimu ly’okulaba ngakomyawo obuwagizi ekibiina kino bwekyafiirwa mu kulonda okuwedde. Abavuganya ku kifo kino buli omu azze asuubizza okukola ennyo okulaba nga NRM yezza obuwagizi mu Buganda, wabula nga nabakulembeze mu buganda baliko bye baagala muntu anaatwala ekifo kino.