KKAMPEYINI E LUWERO: Minisita Kabuye atandikidde mu bbugumu, Mayanja avudde nju ku nju

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Abavuganya ku bifo by’ababaka ba Parliament mu district y’e Luwero ne Nakaseke bangi tebasobodde kutandika kampeyini mu butongole olunaku lw’eggulo nga bwekyalambikibwa akakiiko k’ebyokulonda wabula leero lw’ebatandise. Brenda Nabukenya owa NUP era omubaka omukyala owa Luwero , leero asiibye atalaaga gombolola y’e Luwero, e Nakaseke Minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye avuganya ku kya Nakaseke Central kampeyini azitandkidde mu bbugumu nakuyisa bivvulu songa munne bwebavuganya omubaka aliyo Allan Mayanja Ssebunya y’e asazewo kutambula nju ku nju ng’agamba nti ayagala abantu bamuwe ekisanja ekisembayo. Herbert Kamoga asiibye atalaaga bitundu bino era bino by’akungaanyiza.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *