Kusasira ne Rwashande basambira waggulu oluvannyuma lw’okutikkirwa e Nkumba

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Omuyimbi era nga muwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala Catherine Kusasira agamba mwetegefu okwongera okuweereza eggwanga singa aweebwa obuvunaanyizibwa. Ono leero atikkiddwa Diguli ye esooke mu ssomo lya Public Relations and International Diplomacy ku Yunivaasite e Nkumba. Munnamagye Brig. Gen. Emmanuel Rwashande naye attikiddwa mu ssomo lyerimu era asekeredde abazze babibungeesa mbu teyasoma. Abayizi enkumi bbiri mu kinaana mu musanvu be batikkiddwa ku mukono guno ogw’etabiddwako amyuka sipiika Thomas Tayebwa ng’omugenyi omukulu.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *