Avuganya ku kifo kya Kawempe North Faridah Nambi, asuubiza eyamuwangula mu kalulu k’okujjuza ekifo kino Erias Nalukoola nga bw’agenda okumumegga n’enkoona enywe mu kalulu kaabona akabindabinda. Nambi okwogera bino abadde akuyewa abalonzi mu bitundu bye Kawempe 1 era nga egenda mu maaso n’enkola ya mulyango ku mulyango nga akuyega abalonzi. Ate ye Ssaabawandiisi wa NUP David Lewia Rubongoya atongozza Kampeyini ze ez’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central mu bitundu bye Kamwokya, nga atandikidde mu nzigotta z’e Kamwokya.
Mu kampeyini z’obubaka bwa palamenti e Kampala waliwo bangi abatongozza
1 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
