Omutendesi wa Cranes Paul Put ayongezzaako endagaano

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Kyaddaaki ekibiina ekitwala omuzannyo gw’omupiira mu ggwanga, FUFA kiwanudde emitima gy’abannayuganda egibadde gyewanise oluvannyuma lw’okukitegeera nti omutendesi wa ttiimu ya Uganda Cranes Paul Joseph Put yandirekulira omwezi guno endagaano ye weebadde esuubirwa okuggwako. Kati aba FUFA olw’aleero balangiridde nga bwebatuuse ku nzikirizigannya n’omutendesi ono era ne bamwongera endagaano ya myaka ebiri okutuusa mu 2028. Ono ayitiddewo ttiimu y’abazannyi 28 okuyingira enkambi batandike okwetegekera empaka z’ekikopo kya Africa, AFCON ezigenda okuggyibwako akawuuwo omwezi ogujja.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *