Munnamagye eyaganyuka, nga mu kiseera kino ye muwabuzi w’omukulembeze w’eggwanga mu nsonga z’ebyokwerinda Gen Caleb Akandwanaho asiinga okumanyibwa ennyo nga Salim Saleh, ayanukudde Robert Kyagulanyi Ssentamu ku by’okubba ettaka. Kyagulanyi bweyali awenja akalulu mu bitundu by’e Nakaseke yalumirizza Gen. Salim Salah okubba ettaka eriwerako mu kitundu kino. Wabula mu kumwanukula Saleh yegaanyi eby’okubba ettaka ng’agamba nti bamusibako matu ga mbuzi kwagala kumuliisa ngo. Saleh abadde Kapeeka ng’asisinkanye abakulira ebitongole eby’enjawulo mu ggwanga ab’egattira mu mukago ogwa Presidential CEO forum ababadde bagenze okulambula ku makolero agali erudda eno.
Salim Saleh ayanukudde Kyagulanyi ku by’okubba ettaka
1 Min Read
Leave a review

Trending News
Recent Updates
No posts found