NRM ekunze ab’e Adjumani okuwagira Museveni

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Aba NRM nabo bakyagumbye mu bitundu bye Adjumani okwongera okunnyikiza omulamwa, abakwatidde bendera ku bwa pulezidenti Yoweri Musevveni, kwatambuliza kkampeyini ze – ogwokukuuma ebyo ebituukiddwako oba Protecting the Gains. Bano basisinkanye abayizi abaganyuddwa mu bifo Pulezidenti Museveni bye yassaawo okubangula abayizi mu byemikono ku bwereere ne babasaba okuddamu okumwesiga mu kalulu akajja. N’abomuka ge abaddukanya enteekateeka ya Youth Wealth Creation Programme, nabo babadde mu Division ye Kawempe wano mu Kampala nga balondoola abantu be baawe ebintu byokweggya mu bwavu – omwali ebyalaani, ebikozesebwa mu saluuni n’ebirala, okulaba engeri gye babikozesezzaamu.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *