Kkiraabu y’okubaka eya Uganda Christian University – UCU ekubye bamusaayimuto aba Dynamite ggoolo 43-34 mu luzannya lwabwe olwokubiri mu kitundu kya liigi y’okubaka ekyokubiri ekyagulwawo wiikendi ewedde. Obuwanguzi buno bubayambye okwongera okwenywereza mu kino ekyokuna ku kimeeza kya liigi eno. Mu ngeri y’emu ne KCCA ekubye kkiraabu ya Posta ggoolo 73-37 okwenywereza mu kilo ekyokubiri. Yo Uganda Prisons obubonero efunye bwakumukeeka oluvannyuma lwa Lifesport gye babande balina okuttunka mayo obutalabikako.
UCU, KCCA ne Prisons zeeriisizza nkuuli mu liigi y’okubaka
1 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found