Waliwo abalumbye barakisi za poliisi e Kasese, balumizza abasirikale

Joseph Tumwesigye
0 Min Read

Embeera esiibye ya bunkenke mu disitulikiti ye Kasese, abatamanya ngamba gye bakoze obulumbaganyi ku barracks za Poliisi bbiri mu kitundu kino okukakana nga balumizza abasirikale bataano n’okwonoona obuyumba oba bu UNIPOTS bubiri bano mwe basula. Mu kwerwanako amagye ne Poliisi baggye abalumbaganyi abasukka mu 10 mu budde so nga basobodde okukwatako 30 ku bbo. RDC w’e Kasese Joe Walusimbi atubuulidde nti embeera basobodde okugizza mu nteeko.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *