Waliwo abakungu 12 okuva mu kitongole ky’embuuka z’ennyonyi, Makerere Business School n’eddwaliro ly’e Ntebe abaguddwako emisango gy’okubulankanya ensimbi n’obulabbayi mu kkooti ewozesa abalyake.Bano bakwatiddwa olunaku lw’eggulo oluvannyuma lw’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisangi okubanoonyerezaako nekizuula nti bafiiriza gavumenti obuwumbi 53.Mu bavunaaniddwa mulimu ne Profesor Wasswa Balunywa eyaliko omukulu wa Makerere University Business School.