Olwaleero akakiiko k’eby’okulonda lwekakomekkerezza okunsunsula abeegwanyiza ebifo by’obukulembeze ku mutendera gwa disitulikiti n’ebibuga. Wano mu Kampala ab’akakiiko k’ebyokulonda batubuulidde nti abantu mukaaga bebeesowoddeyo okuvuganya ku bwa meeya bwa Kampala, nga kw’ogasse ne ba kansala okuva mu division ettaano ezikola Kampala. Ab’eby’okulonda batugambye nti enteekateeka yonna etambudde bulungi.