Mu disitulikiti ey’e Wakiso tutegeezeddwa nti enteekateeka z’okusunsula abeesimbyewo zitabudde bukwakku era bano basabiddwa obutatandika kukola kakuyege kubanga akakiiko k’ebyokulonda tekannaba kulangirira nnaku ntuufu ez’okukola kino.Najja Nasiifu eyaweereddwa kkaadi ya NUP ku bwa ssentebe wa Wakiso, yomu ku basunsuddwa, naawera nga bwagenda okukozesa obumanyirivu bwafunye nga ye sipiika wolukiiko lwa district okuweereza abantu abawangaalira mu disitulikiti eno.