Olunaku lw’enkya kkooti enkulu e Mbarara lw’egenda okusalawo eggoye ku ky’okugenda mu maaso n’okuwulira omusango oguwakanya obukulembeze bwa DP obukulemberwa Mao oba okugugoba. Abawakanya obukulembeze bwa Mao balina essuubi nti kkooti eno ejja kubawa obwenkanya kubanga ebyakolebwa mu ttabamiruka eyatuula e Mbarara byali bimenya mateeka .