Tukitegedde nga Ssaabakunzi w’ekibiina ki NUP Habib Buwembo naye bwali mu nkomyo oluvannyuma lw’okukwatibwa ku lwokutaano lwa wiiki eno mu bitundu bye Busujju gye yali agenze ku mirimu gy’ekibiina .Kati Abakulu mu kibiina kino bavumiridde ebikolwa by’okukwata abantu baabwe ng’akalulu kasemberedde. Ssabawandiisi w’ekibiina kino Lewis Rubongoya agamba nti bino bigenndereddwamu kubamalamu maanyi wabula n’asaba bannakibiina okusigala nga bagumu .