Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Moses Banja awagide ekiteeso ky’akakiiko k’eby’okulonda okuyirimiza bannabyabufuzi abawaayo sente mu masinzizo n’ekigendererwa eky’okuperereza abantu okubalonda mu kalulu akabindabinda. Banja agamba nti okukozesa sente mu kalulu kiviirako okulonda abantu ab’ekibogwe olw’okuba balina sente. Ayimirizza ababuulizi okuwa bannabyabufu ekyanya okunnyonnyola byebagenda okukola ng’agamba nti abasinga beetema ne byebaatasobola.