Abaaggyayo empapula ezeegwanyiza okwesimbawo ku bwa president batandise okutwala emikono gye bakungaanyizza mu bannayuganda eri akakiiko k’eby’okulonda olwo nako kakole ogw’okugiyitamu. Mu bamu ku batutteyo kubaddeko Evans Mayambala, Wycliff Kasaijja Kizza, ne bannakibina ki NUP abakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibina David Lewis Rubongoya. Ate okusunsula abeegwanyiza obukulembeze ku mutendera gw’amagombolola ne Munisipaali leero kkwo kukomekkerezeddwa.
Okuvuganya ku bwa pulezidenti: Abaggyayo empapula batutte emikono
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found