Katikiro Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi okwewala okukulembeza ebigendererwa byabwe nga basala eddiiro okuva ku kibiina ky’eby’obufuzi ekimu okudda mu kirala. Okwogera bino Katikkiro abadde asisikanye abakulembeze b’abavubuka okuva mu kibiiina ki PFF, era bano abasabye okusoosowaza ensonga ezinyigiriza bannansi nga lwe banaafuuka abakulembeze ab’enkizo.