Emivuyo mu kaadi ya NUP: Ab’e Mpigi balumbye amaka g’omubaka ‘Dr Hilderman’

Olive Nabiryo
1 Min Read

Bannakibiina ki National Unity Platform okuva mu gombolola ye Mpigi balumbye amaka g’omubaka Hillary Kiyaga akiikirira Mawokota North nga bamulumiriza okubeera omusaale mu kuvuluga engeri kaadi za ba kansala gyezagabwamu.

 Bano balumiriza nti bbo mu ndaba yaabwe kaadi yalina kuweebwa Ivan Kasumba , kyoka kyabakubye ensonyi okulaba nga eweereddwa Vincent Kasozi bbo gwebalumiriza nti talina buwagizi mu kitundu kyabwe.

Kati baagala abakulu mu kibiina baveeyo batangaaze ku nsonga eno.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *