Ettemu e Kayunga: Omusajja asse abantu 3, naye bamusse

Olive Nabiryo
1 Min Read

Ku kyalo Kamukye e Kangulumira mu disitulikiti ye Kayunga waliwo omuvubuka avudde mu mbeera n’akakkana ku bantu basatu n’abatematema okutuusa okubatta, ekiwaliririzza abatuuze naye okumutta.

 Omuvubuka Joel Kabaale yaakoze ettemu lino, nga okutta yasookedde ku beyasanze mu baala mu kiro ekikeeseza enkya ya leero, kyokka bw’abadde agezaako okwekukuma ate nakkira omwana gwasanze mu nyumba y’omutuuze omu namutematema naye n’amutta. 

Tukitegedde nti efujjo lino liwalirizza abatuuze okumutabukira naye ne bamutta n’omulambo gwe nebagukumako omuliro negubengeya.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *