Poliisi etubuulidde nti obulumbaganyi obwakoleddwa ku barracks z’amagye ne Poliisi mu disitulikiti ye Kasese ne Bundibugyo bwabadde buteeketeeke bulungi. Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Kituuma Rusoke agamba nti mu kiseera kino batandise okunoonyereza okuzuula oba nga kino kyabadde kikolwa kya buyeekera oba nedda. Kyokka ono atubuulidde nti ebyokwerinda byongedde okumyumyulwa mu bitundu bino okulaba ng’embeera teva mu nteeko.
Poliisi egamba obulumbaganyi ku b’ebyokwerinda bwabadde buteeketeeke, ekyanoonyereza
0 Min Read
Leave a review
Recent Updates
No posts found
