Amyuka Omwogezi w’ekibiina ki NUP Alex Waiswa Mufumbiro ne Sauda Madaada olwaleero basuze mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okuggulwako emisango mu kkooti esookerwako e Kawempe. Omulamuzi wa kkooti eno Damalie Agumaasiimwe bano abasomedde omusango gw’okwetaba mu dduyilo w’ekinnamagye ku kitebe ky’ekibiina kyabwe ki NUP ku ntandikwa y’omwaka guno. Mufumbiro ono yakwatibwa ku Bbalaza ya wiiki eno ku kkooti eno y’emu so nga ye Sauda Madada yakwatiiddwa mu bitundu by’e Busia n’azzibwa e Kampala gy’agambibwa okuddiza emisango egyogerwako.