Kyadaaki Poliisi ye Mbarara yayimbudde omuvubuka Richard Kavuma gweyakwata sabiiti emu e mabega oluvanyuma lw’okumusanga ku kkubo ng’abulira enjiri kyoka ng’agattamu ebyobufuzi.Omuvubuka ono agamba nti ayise mu kutulugunyizibwa, n’emizindaalo gyeyali akozesa gyonna Poliisi n’egibowa. Kyoka ono agamba nti newankubadde ayise omu kutulugunyizibwa, tagenda kuba ku byakugattika byabufuzi mu njiri ya Katonda.