Waliwo omukulu w’essomero e Lyantonde eyo akwatiiddwa, lw’abakulu kusanga ng’essomero eryamukwasibwa, ate abamosesa mu bibiina byalyo mwe balundira ente n’enkoko.Ambrose Makyati nga y’akulira St. Mary’s Kiteesa Primary School y’atwaliiddwa abitebye nga kigambibwa nti ono abadde alagajjalira omulimu gwe.Bino bibaddewo nga minister omubeezi avunaanyizibwa ku kulondoola eby’ensimbi Beatrice Akello atalaaga district eno okulaba emirimu bwe gitambula.
Omukulu w’essomero akwatiddwa, bamulanze kukkiriza basomesa kulundira mu bibiina by’abayizi

Leave a Comment