Kkooti enkulu e Mbarara egobye okusaba okwali kwatekebwayo abamu ku bannakibiina ki Democratic Party nga bawakanya obukulembeze obwava mu tabamiruka w’ekibiina eyatuula e Mbarara mu gw’omukaaga omwaka guno.Mu nsalaye omulamuzi agubadde mu mitambo Allan Nshimye agambye nti abawaaba tebasooka kulaga kwemulugunya eri bakulembeze baabwe- bwatyo n’abalagira baliyirire bebaabade bawawaabidde olw’okubatira erinnya.Bbo bannamateeka babawaabi bagamba nti ensonga bakuzongerayo.