Bannakibiina ki NRM e Busoga bongedde okulaga obutakaanya nga buli ludda lulwana kufuna buganzi eri ssentebe wa Kibiina.Kati abawagizi beyaliko sipiika wa Palamenti Rebecca alitwala Kadaaga bambalidde akabinja akakulemberwa Isaac Musumba akaakatondebwawo okunonyeza pulezidenti museveni akalulu nga bagamba nti bano banoonya kyakulya.Ssentebe wa NRM e Kamuli Matayo Bazanya agambye nti tanafunako bbaluwa emukakasa nga obukulembeze bwa NRM mu Busoga bwebwakyuse , kale nga buli avaayo okubweyagaliza yenoonyeza bibye.