Abakulira ekibiina ki National Unity Platform bategese okuwandiikira akakiiko ke byokulonda nga bawakanya kyebayise okulemese abantu baabwe okusunsulwa bavuganye ku bifo eby’enjawulo.Ateeketeekera ekibiina kino David Lewis Rubongoya atugambye nti waliwo ekkobaane elyokulemesa banna NUP okusunsulwa naddala nga bekwasa nti tebalina mikono gyimala kubasemba.Kko akakiiko kebyokulonda bino byonna kabiwakanyiza nekabasaba okuleeta obujjulizi obulumika bye boogerako.