Abadde Omusumba w’essaza ly’ekelezia erye Jinja Charles Wamika aziikiddwa olwaleero mu lutikko ye Lubaga mu kibuga Jinja era nga Yê musumba asoose okuziikibwa mu Kelezia eno.
Wamika yafa wiiki ewedde ekirwadde kya Kookolo.
Akulembeddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Tororo Emanuel Obbo akuutidde abakristu okusigala obumu mu kaseera kano ak’okugezesebwa.
