Omuzannyo gw’okuvuga ebidduka gunyumira bangi abagwetabamu wamu n’abawagizi naye ate oyinza okugamba nti gwabulabe nnyo gyebali. Wabula Arthur Blick Senior kati amaze emyaka 43 nga atambulira mu kagaali olw’obuvune bweyafunira mu muzannyo guno agamba nti obulabe obuli mu muzannyo guno bwangu nyo okwewalibwa singa abagwetabamu baba bagoberedde amateeka gagwo.